Lwakubiri, Jjulaayi 29
Nkusanyukira.—Luk. 3:22.
Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa asiima abantu be ng’ekibiina! Bayibuli egamba nti: “Yakuwa asanyukira abantu be.” (Zab. 149:4) Kyokka ebiseera ebimu abamu baggwaamu nnyo amaanyi ne batuuka n’okwebuuza nti, ‘Ddala nsiimibwa mu maaso ga Yakuwa?’ Bayibuli eyogera ku baweereza ba Yakuwa bangi ebiseera ebimu abaakisanga nga kizibu okukkiriza nti baali basiimibwa mu maaso ga Yakuwa. (1 Sam. 1:6-10; Yob. 29:2, 4; Zab. 51:11) Bayibuli ekyoleka bulungi nti wadde ng’abantu tebatuukiridde, basobola okusiimibwa mu maaso ga Katonda. Mu ngeri ki? Tulina okukkiririza mu Yesu Kristo era ne tubatizibwa. (Yok. 3:16) Bwe tukola bwe tutyo tuba tukyoleka mu lujjudde nti twenenya ebibi byaffe era nti twasuubiza Katonda nti tujja kukolanga by’ayagala. (Bik. 2:38; 3:19) Yakuwa asanyuka nnyo bwe tukola ebintu ebyo okusobola okuba mikwano gye. Bwe tufuba okutuukiriza obweyamo bwe twakola nga twewaayo eri Yakuwa, Yakuwa atusiima era atutwala nga mikwano gye.—Zab. 25:14. w24.03 26 ¶1-2
Lwakusatu, Jjulaayi 30
Tetuyinza kulekera awo kwogera ku bintu bye twalaba ne bye twawulira.—Bik. 4:20.
Tusaanidde okukoppa abatume nga tweyongera okubuulira ab’obuyinza ne bwe batugamba okulekera awo okubuulira. Tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba okutuukiriza obuweereza bwaffe. N’olwekyo, saba Yakuwa akuwe obuvumu n’amagezi era akuyambe okugumira ebizibu. Bangi ku ffe twolekagana n’ebizibu gamba ng’obulwadde, okufiirwa omuntu waffe, embeera y’omu maka enzibu, okuyigganyizibwa, n’ebizibu ebirala. Ate ebintu gamba ng’ebirwadde eby’amaanyi ebibaluseewo, n’entalo, bikifudde kizibu nnyo okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo. Bw’oba ng’oyolekagana n’ebizibu, weeyabize Yakuwa. Mutegeeze embeera gy’oyitamu nga bwe wandibadde otegeeza mukwano gwo ow’oku lusegere. Mwesige nti “ajja kukuyamba.” (Zab. 37:3, 5) Bwe tunyiikirira okusaba, kijja kutuyamba ‘okugumiikiriza nga tubonaabona.’ (Bar. 12:12) Yakuwa amanyi ebyo abaweereza be bye bayitamu, era “awulira okuwanjaga kwabwe.”—Zab. 145:18, 19. w23.05 5-6 ¶12-15
Lwakuna, Jjulaayi 31
Mufubenga okumanya ebyo ebikkirizibwa Mukama waffe.—Bef. 5:10.
Bwe wabaawo ebintu ebikulu bye tulina okusalawo, tusaanidde okumanya ekyo “Yakuwa ky’ayagala” era ne tukikolerako. (Bef. 5:17) Bwe tuzuula omusingi gwa Bayibuli ogukwata ku mbeera yaffe, tuba tunoonya endowooza Katonda gy’alina ku mbeera eyo. Era bwe tukolera ku misingi gye, kituyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Omulabe waffe Sitaani ayagala twemalire ku bintu by’ensi tuleme kufuna biseera bya kuweereza Katonda waffe. (1 Yok. 5:19) Kyangu nnyo Omukristaayo okukulembeza ssente, obuyigirize, oba omulimu, mu kifo ky’okwenyigira mu bintu ebitali bimu bye tukola nga tuweereza Yakuwa. Ekyo bwe kibaawo, kiba kiraga nti atwaliriziddwa endowooza y’ensi. Kyo kituufu nti ebintu ebyo si bikyamu, naye tetusaanidde kubikulembeza. w24.03 24 ¶16-17