-
Okuva 29:16-18Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
16 Ojja kutta endiga eyo, oddire omusaayi gwayo ogumansire ku njuyi zonna ez’ekyoto.+ 17 Endiga ojja kugitemaatemamu ebitundu, oyoze ebyenda byayo+ n’amagulu gaayo, ebitundu obiteeke wamu n’omutwe gwayo. 18 Ojja kwokya endiga yonna enyookere ku kyoto. Ekyo kiweebwayo ekyokebwa eri Yakuwa, eky’evvumbe eddungi.*+ Ekyo kiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro.
-
-
Eby’Abaleevi 8:18-21Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
18 Awo Musa n’aleeta endiga ennume ey’ekiweebwayo ekyokebwa, Alooni ne batabani be ne bassa emikono gyabwe ku mutwe gwayo.+ 19 Musa n’agitta n’amansira omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez’ekyoto. 20 Endiga n’agisalamu ebitundutundu, n’ayokya omutwe gwayo, n’ebitundutundu byayo, n’amasavu gaayo.* 21 N’ayoza ebyenda byayo n’amagulu gaayo ng’akozesa amazzi, endiga yonna n’agyokera ku kyoto. Kyali kiweebwayo ekyokebwa eky’evvumbe eddungi.* Kyali kiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, nga Yakuwa bwe yamulagira.
-
-
Eby’Abaleevi 9:12-14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 Oluvannyuma yatta ensolo y’ekiweebwayo ekyokebwa, batabani be ne bamuwa omusaayi, n’agumansira ku njuyi zonna ez’ekyoto.+ 13 Baamuwa n’omutwe n’ebitundu ebirala eby’ekiweebwayo ekyokebwa, n’abyokera ku kyoto. 14 Ate era yayoza n’ebyenda n’amagulu n’abyokera ku kyoto kungulu ku kiweebwayo ekyokebwa.
-