7 Ab’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase, Musa yali abawadde obusika mu Basani,+ ate ab’ekitundu ekimu eky’okubiri ekirala, Yoswa yabawa ettaka awamu ne baganda baabwe ebugwanjuba wa Yoludaani.+ Nabo Yoswa bwe yali ng’abasiibula okuddayo awali weema zaabwe, yabawa omukisa,