-
Ekyabalamuzi 11:21, 22Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
21 Awo Yakuwa Katonda wa Isirayiri n’awaayo Sikoni n’abantu be bonna mu mukono gwa Isirayiri, ne babatta era Isirayiri n’etwala ensi yonna ey’Abaamoli abaali babeera mu nsi eyo.+ 22 Bwe batyo ne batwala ensi yonna ey’Abaamoli okuva ku Alunoni okutuuka ku Yabboki, n’okuva mu ddungu okutuuka ku Yoludaani.+
-