-
Yoswa 12:1, 2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 Bano be bakabaka b’ensi Abayisirayiri be baawangula, bannannyini nsi ezaali ku luuyi lwa Yoludaani olw’ebuvanjuba, okuva ku Kiwonvu* Alunoni+ okutuukira ddala ku Lusozi Kerumooni+ n’ekitundu kyonna ekya Alaba okwolekera ebuvanjuba:+ 2 Kabaka Sikoni+ ow’Abaamoli eyabeeranga mu Kesuboni era yafuganga Aloweri+ ekyali kiriraanye Ekiwonvu* Alunoni.+ Ekitundu kyonna okuva mu makkati g’Ekiwonvu Alunoni okutuuka ku Kiwonvu Yabboki kyali kikye. Yafuganga kimu kya kubiri ekya Gireyaadi. Ekiwonvu* Yabboki nakyo kyali nsalo y’Abaamoni.
-