25 Baawamba ebibuga ebiriko bbugwe+ n’ettaka eggimu,+ era baatwala ennyumba ezaali zijjudde ebintu ebirungi ebya buli ngeri, n’enzizi ensime, n’ennimiro ez’emizabbibu n’ez’emizeyituuni,+ n’emiti emingi egy’ebibala. Baalya ne bakkuta ne bagejja ne beeyagalira mu bulungi bwo obungi.