15 Awo ababaka ne bagenda ne bakola mu bwangu+ nga kabaka bwe yali alagidde; etteeka lyayisibwa ne mu lubiri lw’e Susani.*+ Awo kabaka ne Kamani ne batuula ne banywa omwenge, naye ekibuga Susani* kyali mu kasattiro.
2 Nnalaba ebyali mu kwolesebwa, era nnabiraba ndi mu kigo ky’e* Susani*+ ekiri mu ssaza ly’e Eramu.+ Nnekkaanya ebyali mu kwolesebwa era nnali kumpi n’Omugga* Ulaayi.