-
Yoswa 7:6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 Awo Yoswa n’abakadde ba Isirayiri ne bayuza ebyambalo byabwe ne beeyala mu maaso g’Essanduuko ya Yakuwa okutuusa akawungeezi, era ne bayiwa enfuufu ku mitwe gyabwe.
-
-
Yona 3:5, 6Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
5 Abantu b’omu Nineeve ne bakkiririza mu Katonda,+ ne balangirira okusiiba era bonna ne bambala ebibukutu, abagagga n’abaavu, abakulu n’abato. 6 Ebigambo ebyo bwe byatuuka ku kabaka wa Nineeve, n’asituka ku ntebe ye ey’obwakabaka n’aggyamu ekyambalo kye eky’obwakabaka n’ayambala ebibukutu n’atuula mu vvu.
-