-
Ezera 9:1, 2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
9 Ebyo olwaggwa, abaami ne bantuukirira ne bagamba nti: “Abayisirayiri ne bakabona n’Abaleevi tebeeyawudde ku bantu b’omu bitundu ebitwetoolodde—Abakanani, Abakiiti, Abaperizi, Abayebusi, Abaamoni, Abamowaabu, Abamisiri,+ n’Abaamoli+—era ne ku bintu byabwe eby’omuzizo.+ 2 Bawasizza abamu ku bawala baabwe era ne babawasiza ne batabani baabwe;+ era bo, ezzadde ettukuvu,+ beetabudde mu bantu b’omu bitundu ebitwetoolodde.+ Abakulu n’abaami be bawomye omutwe mu butali bwesigwa buno.”
-