3 N’asoma ekitabo ekyo mu ddoboozi ery’omwanguka+ ng’ali mu kibangirizi ekiri mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi, okuva ku makya okutuuka mu ttuntu. Yakisomera mu maaso g’abasajja n’abakazi n’abo bonna abaali basobola okutegeera, era abantu bonna baawuliriza bulungi+ ebiri mu kitabo ky’Amateeka.
8 Ne beeyongera okusoma ekitabo, kwe kugamba, Amateeka ga Katonda ow’amazima, mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bagannyonnyola bulungi era ne baggyayo amakulu; bwe batyo ne bayamba abantu okutegeera ebyali bisomebwa.+