-
Olubereberye 22:10-12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
10 Ibulayimu n’agolola omukono gwe n’akwata akambe atte omwana we.+ 11 Naye malayika wa Yakuwa n’amuyita ng’ayima mu ggulu n’agamba nti: “Ibulayimu, Ibulayimu!” N’addamu nti: “Nzuuno!” 12 N’amugamba nti: “Omulenzi tomutta era tomukolako kabi konna; kaakano ntegedde nti otya Katonda kubanga tonnyimye mwana wo, omwana wo omu yekka.”+
-