-
Okuva 14:21, 22Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
21 Awo Musa n’agolola omukono gwe ku nnyanja;+ Yakuwa n’asindika amazzi g’ennyanja ekiro kyonna ng’akozesa omuyaga ogw’amaanyi okuva ebuvanjuba, mpolampola amazzi ne geeyawulamu,+ entobo y’ennyanja n’efuuka olukalu.+ 22 Awo Abayisirayiri ne bayita wakati mu nnyanja ku ttaka ekkalu,+ ng’amazzi gakoze ekisenge ku mukono gwabwe ogwa ddyo n’ogwa kkono.+
-