-
Okuva 14:19, 20Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
19 Awo malayika wa Katonda ow’amazima+ eyali akulembeddemu Abayisirayiri n’avaayo n’adda emabega waabwe, empagi ey’ekire eyali mu maaso gaabwe n’edda emabega waabwe n’eyimirira.+ 20 Yayimirira wakati w’Abamisiri n’Abayisirayiri.+ Ku luuyi olumu ekire kyali kireeta kizikiza ate ku luuyi olulala kyali kireeta kitangaala, nga kimulisa ekiro.+ Abamisiri tebaasemberera Bayisirayiri ekiro kyonna.
-