-
Okuva 16:29Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
29 Mukimanye nti Yakuwa abawadde Ssabbiiti.+ Eyo ye nsonga lwaki ku lunaku olw’omukaaga abawa emmere ya nnaku bbiri. Buli muntu asigale ewuwe; tewaba n’omu ava ewuwe ku lunaku olw’omusanvu.”
-
-
Okuva 20:8-11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
8 “Jjukiranga okukwata olunaku lwa Ssabbiiti era olutwalanga nga lutukuvu.+ 9 Emirimu gyo gyonna ojja kugikoleranga mu nnaku mukaaga,+ 10 naye olunaku olw’omusanvu ssabbiiti eri Yakuwa Katonda wo. Tokolanga mulimu gwonna, ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuddu wo omusajja, wadde omuddu wo omukazi, wadde ensolo yo, wadde omugwira ali mu bibuga* byo.+ 11 Kubanga mu nnaku mukaaga Yakuwa mwe yakolera eggulu n’ensi n’ennyanja ne byonna ebibirimu, n’awummula ku lunaku olw’omusanvu.+ Yakuwa kyeyava awa olunaku lwa Ssabbiiti omukisa era n’alufuula lutukuvu.
-
-
Ekyamateeka 5:12-14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 “‘Okwatanga olunaku lwa Ssabbiiti era olutwalanga nga lutukuvu, nga Yakuwa Katonda wo bwe yakulagira.+ 13 Emirimu gyo gyonna ojja kugikoleranga mu nnaku mukaaga.+ 14 Naye olunaku olw’omusanvu ssabbiiti eri Yakuwa Katonda wo.+ Tokolanga mulimu gwonna,+ ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuddu wo omusajja, wadde omuddu wo omukazi, wadde ente yo, wadde endogoyi yo, wadde ensolo yo yonna, wadde omugwira ali mu bibuga* byo;+ omuddu wo omusajja n’omuddu wo omukazi nabo basobole okuwummula nga ggwe.+
-