32Abantu ne balaba nga Musa aluddewo okukka okuva ku lusozi.+ Ne bakuŋŋaanira awali Alooni ne bamugamba nti: “Situka otukolere katonda anaatukulemberamu,+ kubanga tetumanyi kituuse ku musajja ono Musa, eyatuggya mu nsi ya Misiri.”
4 Alooni n’abaggyako zzaabu, n’amukolamu ekifaananyi* ky’ennyana+ ng’akozesa ekyuma ekyola. Abantu ne batandika okugamba nti: “Isirayiri, ono ye Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri.”+