-
2 Bassekabaka 17:13, 14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Yakuwa yalabulanga Isirayiri ne Yuda ng’ayitira mu bannabbi be bonna ne mu abo bonna abaategeezanga abantu okwolesebwa okwavanga gy’ali,+ ng’agamba nti: “Muleke amakubo gammwe amabi!+ Mukwate amateeka gange n’ebiragiro byange byonna ebiwandiikiddwa mu mateeka ge nnawa bajjajjammwe era ge nnabawa nga mpitira mu baweereza bange bannabbi.” 14 Naye tebaawuliriza, era baasigala bakakanyavu nga* bajjajjaabwe abataalaga kukkiriza mu Yakuwa Katonda waabwe.+
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 24:19Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
19 Yakuwa n’abatumiranga bannabbi okubakomyawo gy’ali; ne babalabulanga naye ne bagaana okuwuliriza.+
-