-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:15, 16Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe yabalabulanga ng’ayitira mu babaka be, yabalabula enfunda n’enfunda, kubanga yali asaasira abantu be n’ekifo kye ky’abeeramu. 16 Naye baajereganga ababaka ba Katonda ow’amazima+ ne banyooma ebigambo bye+ era ne basekerera ne bannabbi be,+ okutuusa obusungu bwa Yakuwa lwe bwabuubuukira abantu be,+ okutuusa lwe kyali nti waali tewakyali ssuubi lyonna lya kubawonya.
-
-
Isaaya 42:24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 Ani awaddeyo Yakobo okunyagibwa,
Era awaddeyo Isirayiri eri abanyazi?
Si ye Yakuwa, Oyo gwe baajeemera?
-
-
Yeremiya 40:2, 3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 Awo eyali akulira abakuumi n’azza Yeremiya ku bbali n’amugamba nti: “Yakuwa Katonda wo yalagula nti akabi kano kandituuse ku kibuga kino, 3 era Yakuwa akituukirizza nga bwe yagamba, olw’okuba mwayonoona mu maaso ga Yakuwa era temwagondera ddoboozi lye. Eyo ye nsonga lwaki kino kibatuuseeko.+
-