-
Yeremiya 34:18-20Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
18 Era kino kye kijja okutuuka ku abo abamenye endagaano yange ne batakola ebyo ebiri mu ndagaano gye baakola mu maaso gange bwe baasalamu ennyana ebitundu bibiri ne bayita wakati waabyo,+ 19 ng’abo be baami b’omu Yuda, abaami b’omu Yerusaalemi, abakungu b’omu lubiri, bakabona, n’abantu bonna ab’omu nsi abaayita wakati w’ebitundu by’ennyana: 20 Nja kubawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe ne mu mukono gw’abo abaagala okubatta, era emirambo gyabwe gijja kuba mmere ya binyonyi ebibuuka mu bbanga n’ensolo ez’oku nsi.+
-