-
Okukungubaga 4:13, 14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Ekyo kyabaawo olw’ebibi bya bannabbi baakyo n’ensobi za bakabona baakyo,+
Abaayiwa omusaayi gw’abatuukirivu abaali mu kyo.+
נ [Nuni]
14 Bannabbi ne bakabona babungeetera mu nguudo nga balinga bamuzibe.+
Bafuuse abatali balongoofu olw’omusaayi,+
Ne kiba nti tewali asobola kukwata ku byambalo byabwe.
-