-
2 Bassekabaka 23:3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
3 Kabaka n’ayimirira okumpi n’empagi n’akola endagaano* mu maaso ga Yakuwa+ nti yali ajja kugobereranga Yakuwa akwatenga ebiragiro bye, n’okujjukiza kwe, n’amateeka ge n’omutima gwe gwonna n’obulamu bwe bwonna, ng’akolera ku bigambo by’endagaano ebyali biwandiikiddwa mu kitabo ekyo. Awo abantu bonna ne bakkiriza okukolera ku ebyo ebyali mu ndagaano.+
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 15:12Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
12 Ate era baakola endagaano okunoonya Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe n’omutima gwabwe gwonna n’obulamu bwabwe bwonna.+
-