-
Nekkemiya 10:28, 29Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
28 Abantu abalala bonna—bakabona, Abaleevi, abakuumi b’oku miryango, abayimbi, abaweereza b’oku yeekaalu,* na buli eyeeyawula ku bantu ab’omu bitundu ebitwetoolodde okukwata Amateeka ga Katonda ow’amazima,+ ne bakazi baabwe ne batabani baabwe ne bawala baabwe, buli eyali asobola okutegeera ekirayiro*— 29 beegatta ku baganda baabwe, n’ab’ebitiibwa mu bo, ne balayira ekirayiro ekyali kisobola okubaleetako ekikolimo singa tebatambulira mu Mateeka ga Katonda ow’amazima agaaweebwa okuyitira mu Musa omuweereza wa Katonda ow’amazima, era singa tebakolera ku biragiro byonna ebya Yakuwa Mukama waffe, ne ku bye yasalawo, ne ku mateeka ge.
-