-
Yobu 2:1-3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 Awo olunaku ne lutuuka nate, abaana ba Katonda ow’amazima*+ ne bagenda okweyanjula mu maaso ga Yakuwa,+ ne Sitaani naye n’agendera mu bo okweyanjula eri Yakuwa.+
2 Yakuwa n’abuuza Sitaani nti: “Ova wa?” Sitaani n’addamu Yakuwa nti: “Nva kuyitaayita mu nsi n’okugitambulatambulamu.”+ 3 Yakuwa n’agamba Sitaani nti: “Olowoozezza* ku muweereza wange Yobu? Tewali alinga ye ku nsi. Musajja mwesigwa+ era mugolokofu,* atya Katonda, era yeewala ebibi. Akyakuumye obugolokofu bwe+ wadde ng’ogezezzaako okundeetera mmusunguwalire+ mmutte* awatali nsonga.”
-