-
2 Bassekabaka 22:18, 19Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
18 Naye kabaka wa Yuda abatumye okwebuuza ku Yakuwa mumugambe nti, “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba: ‘Ku bikwata ku bigambo by’owulidde, 19 olw’okuba omutima gwo gubadde mugonvu ne weetoowaza+ mu maaso ga Yakuwa bw’owulidde ebigambo bye njogedde ku kifo kino ne ku bantu abakibeeramu—nti bajja kufuuka ekintu eky’entiisa era ekikolimo—n’oyuza ebyambalo byo+ era n’okaaba amaziga mu maaso gange, nange nkuwulidde, bw’ayogera Yakuwa.
-
-
Zabbuli 22:24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
Bwe yamukaabirira amuyambe, yawuliriza.+
-
-
Lukka 15:22-24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
22 Naye kitaawe n’agamba abaddu be nti, ‘Mwanguwe! muleete olugoye olusingayo obulungi mulumwambaze, mumunaanike empeta, era mumwambaze n’engatto. 23 Muleete ennyana eya ssava, mugitte, era tulye tusanyuke, 24 kubanga omwana wange ono yali afudde naye kati azuukidde;+ yali azaaye naye kati azaawuse.’ Awo ne batandika okusanyuka.
-
-
Lukka 18:13, 14Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
13 Naye ye omusolooza w’omusolo n’ayimirira walako, nga tayagala na kuyimusa maaso ge kutunula waggulu, naye n’akuba mu kifuba kye ng’agamba nti, ‘Ai Katonda, nsaasira nze omwonoonyi.’+ 14 Mbagamba nti, omusajja ono yaddayo ewuwe nga mutuukirivu okusinga Omufalisaayo oyo.+ Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, naye buli eyeetoowaza aligulumizibwa.”+
-