14 Amangu ago Dawudi n’agamba abaweereza be bonna abaali naye mu Yerusaalemi nti: “Musituke tudduke;+ kubanga tewajja kubaawo awona Abusaalomu! Mwanguwe, si kulwa ng’ayanguwa n’atutuukako n’atukolako akabi, n’atta n’ekitala abantu bonna ab’omu kibuga!”+