LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Samwiri 17:23
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 23 Akisoferi bwe yalaba ng’amagezi ge tebagagoberedde, n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’agenda mu nnyumba ye mu kibuga ky’ewaabwe.+ Bwe yamala okubaako ebiragiro by’awa ab’omu nnyumba ye,+ ne yeetuga.+ Bw’atyo n’afa, era ne bamuziika mu kifo gye baaziika bajjajjaabe.

  • 2 Samwiri 18:14
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 14 Yowaabu n’agamba nti: “Sijja kumala biseera naawe!” Awo n’akwata obusaale* busatu n’agenda n’abulasa Abusaalomu mu mutima ng’akyali mulamu, ng’alengejjera mu matabi g’omuti omunene.

  • Zabbuli 109:15
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 15 Yakuwa k’ajjukirenga bye bakoze;

      K’aggirewo ddala mu nsi kye bayinza okujjuukirirwako.+

  • Matayo 27:3
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 3 Yuda eyamulyamu olukwe bwe yalaba nga bamusalidde ogw’okufa, ne yejjusa, n’azzaayo ebitundu bya ffeeza 30 eri bakabona abakulu n’abakadde,+

  • Matayo 27:5
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 5 Awo n’asuula ebitundu bya ffeeza mu yeekaalu, n’agenda ne yeetuga.+

  • Ebikolwa 1:16
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 16 “Ab’oluganda, kyali kyetaagisa ekyawandiikibwa okutuukirizibwa, omwoyo omutukuvu kye gwayogera edda okuyitira mu Dawudi ku bikwata ku Yuda+ eyakulemberamu abo abaakwata Yesu.+

  • Ebikolwa 1:18
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 18 (Empeera etali ya butuukirivu,+ omusajja oyo yagigulamu ekibanja, era n’agwa omwo ng’asoosaawo mutwe, n’ayabikamu,* ebyenda bye byonna ne biyiika.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share