18 Awo ne bagamba nti: “Mujje tusalire Yeremiya olukwe,+ kubanga amateeka tegaabulenga awali bakabona baffe, n’amagezi tegaabulenga awali abasajja abagezigezi, n’ekigambo tekiibulenga awali bannabbi. Mujje tumwogereko ebibi era tuleme kuwuliriza by’agamba.”