-
Okubala 31:27Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
27 Ojja kugabanyaamu omunyago ebitundu bibiri, ekimu okiwe ab’omu ggye abaagenze mu lutalo okulwana, ate ekirala okiwe abalala bonna ab’omu kibiina.+
-
-
1 Samwiri 30:23-25Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
23 Naye Dawudi n’agamba nti: “Baganda bange, ebyo Yakuwa by’atuwadde temubikola bwe mutyo, kubanga atukuumye era n’agabula mu mukono gwaffe ekibinja ky’abazigu abaatulumba.+ 24 Ani anakkiriziganya nammwe ku ekyo? Omugabo gw’oyo eyagenda mu lutalo gujja kuba gwe gumu n’ogw’oyo eyasigala awali emigugu.+ Bonna bajja kugabanira wamu.”+ 25 Okuva ku lunaku olwo n’okweyongerayo, ekyo Dawudi yakifuula tteeka era kiragiro mu Isirayiri.
-