-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 35:15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Abayimbi abaana ba Asafu+ baali mu bifo byabwe nga bwe baalagirwa Dawudi+ ne Asafu+ ne Kemani ne Yedusuni+ eyategeezanga kabaka okwolesebwa okwavanga eri Katonda; n’abakuumi b’oku miryango baali ku miryango egy’enjawulo.+ Kyali tekibeetaagisa kuva ku mirimu gyabwe kubanga baganda baabwe Abaleevi baali babategekedde.
-