-
Ekyamateeka 29:19, 20Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
19 “Era omuntu bw’anaawulira ebigambo by’ekirayiro kino ne yeenyumiriza mu mutima gwe ng’agamba nti: ‘Nja kuba n’emirembe ne bwe nnaalemera mu makubo g’omutima gwange,’ ekyo ne kyonoona buli kintu ekiri* mu kkubo lye, 20 Yakuwa talimusonyiwa,+ naye obusungu bwa Yakuwa obungi bulimubuubuukira, n’ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kino birimutuukako,+ era Yakuwa alisangula erinnya lye wansi w’eggulu.
-