Zabbuli 147:6 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 6 Yakuwa ayimusa abawombeefu,+Naye ababi abasuula ku ttaka. Engero 3:34 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 34 Asekerera abo abakudaala,+Naye asiima abawombeefu.+ Zeffaniya 2:3 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 3 Munoonye Yakuwa+ mmwe mmwenna abawombeefu* ab’omu nsiAbakwata amateeka ge ag’obutuukirivu. Munoonye obutuukirivu, munoonye obuwombeefu.* Oboolyawo mulikwekebwa ku lunaku lw’obusungu bwa Yakuwa.+
3 Munoonye Yakuwa+ mmwe mmwenna abawombeefu* ab’omu nsiAbakwata amateeka ge ag’obutuukirivu. Munoonye obutuukirivu, munoonye obuwombeefu.* Oboolyawo mulikwekebwa ku lunaku lw’obusungu bwa Yakuwa.+