3 Ne bayimba oluyimba lwa Musa+ omuddu wa Katonda n’oluyimba lw’Omwana gw’Endiga+ nga bagamba nti:
“Yakuwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna,+ emirimu gyo mikulu era gyewuunyisa.+ Kabaka ow’emirembe+ n’emirembe, amakubo go ga butuukirivu era ga mazima.+