-
Danyeri 3:29Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
29 N’olwekyo, mpisa ekiragiro nti abantu ab’amawanga ag’enjawulo n’ennimi ez’enjawulo abanaayogera ekintu kyonna ekibi ku Katonda wa Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, batemebwetemebwe era ennyumba zaabwe zifuulibwe kaabuyonjo eza lukale;* kubanga teriiyo katonda mulala yenna asobola kuwonya ng’oyo.”+
-
-
Danyeri 6:26, 27Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
26 Ntaddewo etteeka nti, mu bitundu byonna eby’obwakabaka bwange, abantu bonna balina okutyanga Katonda wa Danyeri n’okumussangamu ekitiibwa,+ kubanga ye Katonda omulamu, era abeerawo emirembe n’emirembe. Obwakabaka bwe tebulizikirizibwa n’obufuzi bwe bwa mirembe gyonna.+ 27 Awonya,+ alokola, era akola obubonero n’ebyamagero mu ggulu ne ku nsi,+ kubanga yawonyezza Danyeri amaala g’empologoma.”
-