-
Isaaya 63:11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Awo ne bajjukira ennaku ez’edda,
Ennaku za Musa omuweereza we, ne bagamba nti:
“Ali ludda wa Oyo eyabayisa mu nnyanja+ nga muli wamu n’abasumba b’ekisibo kye?+
Ali ludda wa Oyo eyamussaamu omwoyo gwe omutukuvu,+
-
Ebikolwa 7:35, 36Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
35 Musa oyo gwe baagaana nga bagamba nti: ‘Ani yakulonda okuba omufuzi era omulamuzi?’+ Oyo yennyini Katonda gwe yatuma+ okubeera omufuzi era omununuzi ng’ayitira mu malayika eyamulabikira mu kisaka. 36 Omusajja oyo yabaggyayo+ oluvannyuma lw’okukola ebyamagero n’obubonero mu Misiri+ ne ku Nnyanja Emmyufu+ ne mu ddungu okumala emyaka 40.+
-
-
-