17 Ai Katonda, wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange,+
N’okutuusa kati nkyalangirira ebikolwa byo eby’ekitalo.+
18 Ai Katonda, ne mu kiseera nga nkaddiye era nga mmeze envi, tonjabulira,+
Nsobole okubuulira omulembe oguliddawo ebikwata ku buyinza bwo,
N’abo bonna abaliddawo mbabuulire amaanyi go.+