19 Temujja kugiriira lunaku lumu oba bbiri oba ttaano oba kkumi oba abiri, 20 wabula mujja kugiriira omwezi mulamba, okutuusa lw’eneefulumira mu nnyindo zammwe ne mugyetamwa,+ kubanga mwesambye Yakuwa ali wakati mu mmwe, ne mukaabira mu maaso ge nga mugamba nti: “Twaviira ki e Misiri?”’”+