-
Okuva 7:19Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
19 Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Gamba Alooni nti, ‘Kwata omuggo gwo ogolole omukono gwo ku mazzi g’e Misiri,+ ku migga gyayo, ku bugga bwayo,* ku ntobazi zaayo,+ ne ku ebyo byonna omuterekebwa amazzi, amazzi gonna gafuuke omusaayi.’ Omusaayi gujja kuba mu nsi yonna eya Misiri ne mu bibya byabwe eby’emiti n’eby’amayinja.”
-