9 Amaaso ga Yakuwa gatambulatambula mu nsi yonna+ okulaga amaanyi ge ku lw’abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.*+ Kino ky’okoze kya busirusiru, era okuva kati ojja kubeeranga n’entalo.”+
10 Ani anyoomye olunaku olw’entandikwa entono?*+ Balisanyuka era baliraba bbirigi* mu mukono gwa Zerubbaberi. Amaaso gano omusanvu ge maaso ga Yakuwa agatunulatunula mu nsi yonna.”+