4 kale mmwe ensozi za Isirayiri muwulire Yakuwa Mukama Afuga Byonna ky’agamba! Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba ensozi n’obusozi, emigga n’ebiwonvu, amatongo+ n’ebibuga ebyanyagululwa ne birekebwa awo era ne bisekererwa ab’amawanga abaawonawo ababyetoolodde;+