LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yoswa 7:9
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 9 Abakanani n’abantu bonna ab’omu nsi bwe banaakiwulira bajja kutuzingiza era basaanyeewo erinnya lyaffe ku nsi; kale kiki ky’onookolera erinnya lyo ekkulu?”+

  • 1 Samwiri 12:22
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 22 Yakuwa tajja kwabulira bantu be+ olw’erinnya lye ekkulu,+ kubanga Yakuwa yabafuula bantu be.+

  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 14:11
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 11 Awo Asa n’akoowoola Yakuwa Katonda we+ n’agamba nti: “Ai Yakuwa, eky’okuba nti b’oyamba bangi oba nti tebalina maanyi, si kikulu gy’oli.+ Tuyambe Ai Yakuwa Katonda waffe, kubanga twesiga* ggwe,+ era tuzze mu linnya lyo okulwanyisa ekibiina kino.+ Ai Yakuwa, ggwe Katonda waffe; omuntu obuntu tomukkiriza kukusinga maanyi.”+

  • Zabbuli 115:1, 2
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 115 Si ffe, Ai Yakuwa, si ffe,*

      Wabula erinnya lyo ly’oba owa ekitiibwa+

      Olw’okwagala kwo okutajjulukuka n’olw’obwesigwa bwo.+

       2 Lwaki amawanga gandibuuzizza nti:

      “Katonda waabwe ali ludda wa?”+

  • Isaaya 48:9
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  9 Naye olw’erinnya lyange ndizibiikiriza obusungu bwange;+

      Olw’ettendo lyange ndyefuga,

      Ne sikuzikiriza.+

  • Yeremiya 14:7
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  7 Wadde ng’ensobi zaffe zitulumiriza,

      Ai Yakuwa, baako ky’okolawo ku lw’erinnya lyo.+

      Kubanga ebikolwa byaffe eby’obutali bwesigwa bingi,+

      Era twonoonye mu maaso go.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share