Okuva 6:3 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 3 Nnalabikiranga Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo nga Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna,+ naye saabamanyisa+ makulu ga linnya lyange Yakuwa.*+ Zabbuli 68:4 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 4 Muyimbire Katonda; muyimbe ennyimba ezitendereza erinnya lye.+ Muyimbire Oyo ayita mu ddungu.* Ya* lye linnya lye!+ Mujagulize mu maaso ge! Isaaya 42:8 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 8 Nze Yakuwa. Eryo lye linnya lyange;Ekitiibwa kyange sirina mulala gwe nkiwa,*N’ettendo lyange siriwa bifaananyi byole.+ Isaaya 54:5 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 5 “Kubanga Omutonzi wo ow’Ekitalo+ alinga balo,*+Yakuwa ow’eggye lye linnya lye,Era Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo.+ Aliyitibwa Katonda w’ensi yonna.+
3 Nnalabikiranga Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo nga Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna,+ naye saabamanyisa+ makulu ga linnya lyange Yakuwa.*+
4 Muyimbire Katonda; muyimbe ennyimba ezitendereza erinnya lye.+ Muyimbire Oyo ayita mu ddungu.* Ya* lye linnya lye!+ Mujagulize mu maaso ge!
8 Nze Yakuwa. Eryo lye linnya lyange;Ekitiibwa kyange sirina mulala gwe nkiwa,*N’ettendo lyange siriwa bifaananyi byole.+
5 “Kubanga Omutonzi wo ow’Ekitalo+ alinga balo,*+Yakuwa ow’eggye lye linnya lye,Era Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo.+ Aliyitibwa Katonda w’ensi yonna.+