3 Sindika ekitangaala kyo n’amazima go.+
Ka binkulembere;+
Ka binnuŋŋamye bintuuse ku lusozi lwo olutukuvu ne ku weema yo ey’ekitiibwa.+
4 Awo nja kutuuka ku kyoto kya Katonda,+
Eri Katonda, essanyu lyange ery’ensusso.
Era nja kukutendereza nga nsuna entongooli,+ Ai Katonda, Katonda wange.