Zabbuli 27:11 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 11 Njigiriza ekkubo lyo, Ai Yakuwa,+Nkulembera mu kkubo ery’obutuukirivu olw’abalabe bange. Zabbuli 119:33 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 33 Ai Yakuwa, njigiriza+ okutambulira mu mateeka go,Nja kugagoberera okutuukira ddala ku nkomerero.+ Zabbuli 143:8 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 8 Ku makya, ka mpulirenga okwagala kwo okutajjulukuka,Kubanga ggwe gwe nneesiga. Ndaga ekkubo lye ŋŋwanidde okutambuliramu,+Kubanga ggwe gwe nneeyuna. Isaaya 54:13 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 13 Abaana bo bonna baliyigirizibwa Yakuwa,+Era emirembe gy’abaana bo giriba mingi.+
8 Ku makya, ka mpulirenga okwagala kwo okutajjulukuka,Kubanga ggwe gwe nneesiga. Ndaga ekkubo lye ŋŋwanidde okutambuliramu,+Kubanga ggwe gwe nneeyuna.