LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Zabbuli 112:4
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  4 Eri abagolokofu alinga ekitangaala ekyaka mu nzikiza.+

      ת [Kesu]

      Wa kisa, musaasizi,+ era mutuukirivu.

  • Engero 4:18
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 18 Naye ekkubo ly’abatuukirivu liringa ekitangaala ekibaawo ng’obudde bwakakya

      Ekigenda kyeyongerayongera okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.+

  • Isaaya 30:26
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 26 Era ekitangaala ky’omwezi ogw’eggabogabo kiriba ng’eky’enjuba; ekitangaala ky’enjuba kiryeyongera emirundi musanvu;+ kiriba ng’ekitangaala eky’ennaku omusanvu, ku lunaku Yakuwa lw’alisiba abantu be abamenyese+ era n’awonya ebiwundu ebinene by’aliba abatuusizzaako ng’abakuba.+

  • Mikka 7:9
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  9 Nja kugumiikiriza obusungu bwa Yakuwa

      —Kubanga nsobezza gy’ali+—

      Okutuusa lw’anampolereza, ne ndagibwa obwenkanya.

      Ajja kundeeta mu kitangaala,

      Nja kutunuulira obutuukirivu bwe.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share