-
Yoswa 23:6, 7Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
6 “Kale mubeerenga bavumu nnyo musobole okukwata n’okukolera ku ebyo byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky’Amateeka ga Musa,+ nga temugavaako kudda ku ddyo oba ku kkono,+ 7 era nga temwetabika na mawanga gano+ agasigaddewo mu mmwe. Temukoowoolanga mannya ga bakatonda baabwe+ wadde okulayira mu mannya gaabwe, era temubaweerezanga wadde okubavunnamira.+
-