LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Ebyomumirembe Ekisooka 16:27
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 27 Ekitiibwa n’obulungi biri mu maaso ge,+

      Amaanyi n’essanyu biri w’abeera.+

  • Ezeekyeri 1:27, 28
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 27 Awo ne ndaba bwe yali afaanana okuva ku ekyo ekyalabika ng’ekiwato kye okudda waggulu. Yali afaanana ng’ekyuma ekimasamasa+ ekyetooloddwa omuliro. Okuva mu kiwato kye okukka wansi yali afaanana ng’omuliro,+ era yali yeetooloddwa ekitangaala eky’amaanyi 28 ekyali kifaanana nga musoke+ aba ku kire ku lunaku olw’enkuba. Ekitangaala eky’amaanyi ekyali kimwetoolodde bwe kityo bwe kyali kifaanana. Kyali ng’ekitiibwa kya Yakuwa.+ Bwe nnakiraba, ne nvunnama wansi ne mpulira eddoboozi ly’oyo eyali ayogera.

  • Danyeri 7:9
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 9 “Nneeyongera okutunula okutuusa entebe ez’obwakabaka lwe zaateekebwawo, era Oyo Abaddewo Okuva Edda n’Edda+ n’atuula.+ Ebyambalo bye byali byeru ng’omuzira,+ era enviiri z’oku mutwe gwe zaali ng’ebyoya by’endiga ebitukula. Entebe ye yali nnimi za muliro; nnamuziga zaayo zaali muliro ogwaka.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share