14 Nja kubaleka munzuule,’+ Yakuwa bw’agamba. ‘Nja kukuŋŋaanya abantu bammwe abaawambibwa, era nja kubakuŋŋaanya mmwe mbaggye mu mawanga gonna ne mu bifo gye nnabasaasaanyiza,’+ Yakuwa bw’agamba. ‘Nja kubakomyawo mu kifo gye nnabaggya okubatwala mu buwaŋŋanguse.’+