-
2 Samwiri 15:2, 3Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
2 Abusaalomu yazuukukanga ku makya n’ayimirira ku mabbali g’ekkubo erigenda ku mulyango gw’ekibuga.+ Omuntu yenna bwe yabanga n’ensonga ey’okutwala eri kabaka okumulamula,+ Abusaalomu yamuyitanga n’amubuuza nti: “Ova mu kibuga ki?” omuntu oyo yamuddangamu nti: “Omuweereza wo ava mu kimu ku bika bya Isirayiri.” 3 Olwo Abusaalomu ng’amugamba nti: “Ensonga zo ntuufu era nnungi naye tewali muntu kabaka gw’ataddewo kuziwulira.”
-
-
Zabbuli 31:18Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
18 Emimwa emirimba ka gibunire;+
Emimwa egyogeza amalala n’obunyoomi nga giduulira abatuukirivu.
-