2 Samwiri 22:7 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 7 Mu nnaku yange nnakoowoola Yakuwa,+Nnakoowoola Katonda wange. Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye,Era amatu ge gaawulira okuwanjaga kwange.+ Zabbuli 10:17 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 17 Naye ojja kuwulira okwegayirira kw’abawombeefu, Ai Yakuwa.+ Ojja kugumya emitima gyabwe+ era obawulirize.+ Zabbuli 34:15 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 15 Amaaso ga Yakuwa gali ku batuukirivu,+N’amatu ge gabawuliriza bwe bamukoowoola abayambe.+ 1 Peetero 3:12 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 12 Kubanga amaaso ga Yakuwa* gali ku batuukirivu, n’amatu ge gawulira okwegayirira kwabwe,+ naye Yakuwa* yeesambira ddala abo abakola ebintu ebibi.”+
7 Mu nnaku yange nnakoowoola Yakuwa,+Nnakoowoola Katonda wange. Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye,Era amatu ge gaawulira okuwanjaga kwange.+
17 Naye ojja kuwulira okwegayirira kw’abawombeefu, Ai Yakuwa.+ Ojja kugumya emitima gyabwe+ era obawulirize.+
12 Kubanga amaaso ga Yakuwa* gali ku batuukirivu, n’amatu ge gawulira okwegayirira kwabwe,+ naye Yakuwa* yeesambira ddala abo abakola ebintu ebibi.”+