15 Bwe kiba nga kibi mu maaso gammwe okuweereza Yakuwa, mweronderewo leero gwe munaaweerezanga,+ oba bakatonda bajjajjammwe be baaweerezanga emitala w’Omugga+ oba bakatonda b’Abaamoli ab’omu nsi gye mulimu.+ Naye nze n’ab’omu nnyumba yange tunaaweerezanga Yakuwa.”