LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 1 Samwiri 24:11
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 11 Ate era kitange laba akatundu k’olukugiro lw’ekizibaawo kyo ekitaliiko mikono ke nkutte; kubanga bwe nkasazeeko sikusse. Kaakano okirabye era okitegedde nti saagala kukukolako kabi wadde okukujeemera, era sirina kibi kye nnali nkukoze,+ so ng’ate ggwe onjigga okunzita.+

  • 2 Samwiri 22:21-25
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 21 Yakuwa ampa empeera okusinziira ku butuukirivu bwange;+

      Ampa empeera olw’okuba siriiko musango.*+

      22 Kubanga ntambulidde mu makubo ga Yakuwa,

      Era ekibi eky’okuva ku Katonda wange sikikoze.

      23 Amateeka ge gonna+ gali mu maaso gange;

      Sijja kuva ku biragiro bye.+

      24 Nja kusigala nga siriiko kya kunenyezebwa+ mu maaso ge,

      Era nja kwewala okwonoona.+

      25 Yakuwa k’ampe empeera olw’okuba ndi mutuukirivu;+

      Siriiko musango mu maaso ge.+

  • Zabbuli 24:3, 4
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    •  3 Ani ayinza okwambuka ku lusozi lwa Yakuwa,+

      Era ani ayinza okuyimirira mu kifo kye ekitukuvu?

       4 Oyo ataliiko musango era alina omutima omulongoofu,+

      Oyo atalayiridde bulamu bwange* kirayiro kya bulimba,

      Wadde okulayira mu bukuusa.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share